Micah 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi, mmwe abasusumbula ensusu ku bantu bange, n'ennyama yaabwe ne mugiryako ku magumba gaabwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi; mmwe ababaagako abantu bange eddiba ne mubaggyako ennyama ku magumba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe abakyawa ebirungi, era abaagala ebibi; abaggya olususu ku mubiri gw'abantu bange, era n'ennyama okuva ku magumba gaabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mukyawa ebirungi, ne mwagala ebibi. Mubaagako abantu bange eddiba, ne mubaggyako ennyama ku magumba!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abakyawa ebirungi, era abaagala ebibi; ababaggyako eddiba lyabwe n'omubiri gwabwe ku magumba gaabwe;