Micah 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama balimulaajanira, naye talibaanukula. Ku olwo alibakweka amaaso ge, olw'okubeera ebibi byabwe bye baakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balikoowoola Mukama, naye talibaanukula. Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge olw’ebibi bye bakoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo banaakaabiriranga Mukama, so tabaddengamu; weewaawo, anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, kubanga baafula ebikolwa byabwe ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kirituuka ne mukaabirira Mukama, kyokka talibaddamu. Taliwuliriza kusaba kwammwe, kubanga mwakola ebikolwa bibi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo banaakaabiriranga Mukama, so tebaddengamu; weewaawo, anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, nga bwe baakola obubi mu bikolwa byabwe.