Micah 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba ku balanzi abawubisa abantu bange: “Bwe babaako n'ekyokulya, bagamba nti ‘Mirembe,’ naye oli bw'atabassa kantu mu kamwa, bamuggulako lutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Bannabbi ababuzaabuza abantu balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa, naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku bannabbi abaakyamya abantu bange; era aboogerera waggulu nti, “Mirembe;” buli lwe baba n'eky'okulya, naye balangirira olutalo ku buli agaana okuteeka emmere mu mimwa gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi bawubisa abantu bange nga basuubiza emirembe eri buli abawa ekyokulya, ne balangirira olutalo ku abo abatabawadde mmere. Abalanzi abo Mukama abagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bannabbi abakyamya abantu bange; abaluma n'amannyo gaabwe, era bayogerera waggulu nti Mirembe; na buli agaana okuwa mu bumwa bwabwe, n'okukuma bamukumira olutalo; nti