Micah 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno ekiro kiribakwatiriza nga temulabikiddwa, n'ekizikiza, nga temulaguddwa. Enjuba erizaamira abalanzi, n'olunaku lulibafuukira enzikiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa, n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa. Enjuba erigwa nga bannabbi balaba, n’obudde bubazibirire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo kiriba kiro gye muli, awatali kwolesebwa; era kizikiza gye muli, awatali kutegeezebwa Katonda by'agamba. Enjuba erigwa ku bannabbi abo, era obudde obw'emisana bulibaddugalira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olw'ekyo balanzi mmwe, enjuba eneetera okugwa nga mutunula, obudde obw'emisana bubaddugalire, mulyoke mubeere mu kiro nga temukyalabikirwa; mube mu kizikiza nga temukyalanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyekiriva kibeera ekiro gye muli, muleme okwolesebwa; era ekizikiza kiriba gye muli, muleme okulagula; era enjuba erigwira bannabbi, era obudde buliddugala ku bo.