Micah 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo abalabi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala; bonna balyebikka ku maaso gaabwe, kubanga Katonda takyayanukula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabi baliswazibwa n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi. Bonna balibikka amaaso gaabwe kubanga Katonda tabaanukula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala; weewaawo, bonna balibikka ku mimwa gyabwe; kubanga tewali kuddamu kuva ewa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala. Bonna balibikka ku mimwa gyabwe, kubanga Katonda talibaanukula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abalabi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala; weewaawo, bonna balibikka ku mimwa gyabwe; kubanga tewali kuddamu kwa Katonda.