Micah 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze nzijudde amaanyi, nzijudde Mwoyo wa Katonda, n'obutuufu n'amaanyi, okubuulira Yakobo omusango gwe ne Yisirayeli ekibi kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze, nzijjudde amaanyi n’Omwoyo wa Mukama, okwekaliriza ensonga n’obuvumu, njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola, olw’ekibi kya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze, nzijjudde amaanyi, n'omwoyo gwa Mukama, era n'obwenkanya n'obuzira, naangirire eri Yakobo okwonoona kwe era ne Isiraeri ebibi bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze, Mukama anzijuza omwoyo gwe era n'amaanyi, n'amazima era n'obuvumu, okutegeeza Abayisirayeli ebibi byabwe nga bwe biri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mazima nze njijudde amaanyi olw'omwoyo gwa Mukama, n'omusango n'obuzira, mbuulire Yakobo okwonoona kwe era mbuulire Isiraeri ebibi bye: