Micah 3:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mmwe abakungu ab'omu nnyumba ya Yakobo, mmwe abafuzi ab'ennyumba ya Yisirayeli, muwulire kino: mmwe abeenyinyala obutuufu ne mukyamya buli kituufu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo, Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri, Mmwe abanyooma obwenkanya Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire kino, mbeegayirira, mmwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, mmwe abakyawa obwenkanya, era abakyusa okwenkanankana,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muntegere amatu mmwe abakulira ennyumba ya Yakobo, abafuzi ba Yisirayeli, mmwe abakyawa amazima, ekirungi ne mukifuula ekibi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire kino, mbeegayirira, mmwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, abatamwa omusango, era abalya ensonga zonna.