Micah 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ez'oluvannyuma, olusozi lw'Ekiggwa ky'Omukama lulissibwawo nga lutikko mu nsozi zonna; luligulumizibwa ne lulengezza obusozi; abantu balikuluggukira gye luli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku ez’oluvannyuma olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa okusinga ensozi zonna; lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi, era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma olusozi olw'ennyumba ya Mukama lulinnywezebwa ng'olusinga ensozi zonna obuwanvu, era luliyimusibwa okusinga obusozi bwonna; era abantu baliluddukirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera ebirijja olusozi okuli Essinzizo lwe luliba lusinga zonna obugulumivu. Lulitumbiira okuyisa obusozi bwonna. Ab'omu mawanga mangi balijja nga bakuluggukira ku lwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu nnaku ez'oluvannyuma olulituuka olusozi olw'ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y'ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu.