Micah 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weenyoole mu bulumi, muwala wa Siyoni, ng'obw'omukazi azaala, kubanga kati otuuse okuva mu kibuga, ogende osule ku ttale; ojja kugenda e Babiloni; eyo gy'oliwonyezebwa, eyo Omukama gy'alikununulira okuva mu mikono gy'abalabe bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni ng’omukazi alumwa okuzaala. Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga ogende obeere ku ttale. Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, era eyo gye ndibalokolera. Ndibanunulira eyo okuva mu mukono gw’omulabe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lumwa, era sinda, ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alumwa okuzaala; kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babbulooni. Eyo gy'olirokokera; era eyo Mukama gy'alikununulira mu mukono gw'abalabe bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulumwe nnyo musinde ng'omukazi alumwa okuzaala, mmwe abantu b'omu Siyooni, kubanga kaakano mujja kuva mu kibuga, musiisire ku ttale. Era muligenda e Babilooni. Naye eyo Mukama gy'alibanunulira mu balabe bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lumibwa, sindika, ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alumwa okuzaala; kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babulooni; eyo gy'orokokera; eyo Mukama gy'alinunulira mu mukono gw'abalabe bo.