Micah 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gaago nno amawanga mangi gakukuŋŋaaniddeko, gagamba nti: “Agwagwawaziddwa, amaaso gaffe geerolere Siyoni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka kaakano amawanga mangi gakuŋŋaanye okubalwanyisa. Boogera nti, Ayonoonebwe, n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kaakano amawanga mangi agakuŋŋaana okulwana naawe, agoogera nti, “Ayonooneke, era amaaso gaffe gatunuulire ebyo bye gaagala okulaba nga bituuka ku Sayuuni!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano ab'omu mawanga mangi bakuŋŋaanye okubalwanyisa mmwe, nga bagamba nti: “Yerusaalemu kyonoonebwe! Twagala tulabe nga kizikiridde!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano amawanga magi agakuŋŋaana okulwana naawe, googera nti Ayonooneke, era amaaso affe gatunuulire ebyo bye gaagala ga bituuse ku Sayuuni.