Micah 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bo bennyini tebaamanya birowoozo bya Mukama, tebaategeera ntegeka ze, oyo abakuŋŋaanya ng'emiganda gy'eŋŋano mu gguuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; tebategeera kuteesa kwe; oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga abakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'eŋŋaano, alyoke abakubire mu gguuliro lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ab'omu mawanga ago tebamanyi Mukama by'alowooza. Tebamanyi ng'abakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'eŋŋaano, abakubire mu gguuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga bakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'ettaano ku gguuliro lye.