Micah 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Situka, muwala wa Siyoni, wuula! Kubanga ejjembe lyo nzija kulifuula lya kyuma, n'ebinuulo byo, bya kikomo, ojja kubetenta amawanga mangi. Bye baanyaga olibiwongera Omukama, n'eby'obugagga bwabwe, Omukama w'ensi yonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni, kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma; ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo era olibetenta amawanga mangi.” Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri Mukama, n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mmwe ab'omu Yerusaalemu, mugende mubonereze abalabe bammwe. Ndibafuula ba maanyi mmwe, ng'ente eya sseddume erina amayembe ag'ekyuma, n'ebinuulo eby'ekikomo. Mulibetenta amawanga mangi, ebyobugagga byabwe ne mubiwongera Nze Mukama, Mukama w'ensi zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaameya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi zonna.