Micah 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga mangi galijja, ne bagamba nti: “Mujje twambuke ku lusozi lw'Omukama, eri Ekiggwa kya Katonda wa Yakobo, atuyigirize amakubo ge, tutambulire mu bukubo bwe. Kubanga etteeka liriva mu Siyoni, n'ekigambo ky'Omukama kiriva mu Yeruzaalemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga mangi galiragayo ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo. Alituyigiriza by’ayagala tulyoke tutambulire mu makubo ge.” Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye, n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era amawanga mangi agalijja, ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; alyoke atuyigirize amakubo ge, naffe tulitambulira mu go.” Kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka, n'ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era baligamba nti: “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, ku Ssinzizo lya Katonda wa Yisirayeli. Alituyigiriza by'ayagala tukole, tulitambulira mu makubo g'atulaga. Kubanga mu Siyooni mwe muva ebyo Mukama by'alagira. Asinziira mu Yerusaalemu okwogera n'abantu be.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby'enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.