Micah 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliramula abantu bangi; alisalirawo amawanga ag'amaanyi ag'ewala eyo; ebitala byabwe balibiweesaamu enkumbi, n'amafumu baligawesaamu ebiwabyo. Eggwanga teririgalulira ggwanga linnaalyo kitala, era tebaliddayo kuyiga bya ntalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliramula amawanga atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala. Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi, n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi, n'amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliramula amawanga ag'amaanyi, agali okumpi n'agali ewala. Ebitala byabwe balibiweesaamu enkumbi, n'amafumu gaabwe baligaweesaamu ebiwabyo. Amawanga tegaalwanaganenga, era tewaabenga nate kutendekebwa mu bya ntalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n'amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.