Micah 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli ggwanga liritambulira mu linnya lya lubaale waalyo, naye ffe tulitambulira mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga amawanga gonna galigoberera bakatonda baago, naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu aba buli ggwanga bakolera ku biragiro bya balubaale baabwe. Naye ffe tunaakoleranga ku biragiro bya Mukama, Katonda waffe ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe.