Micah 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo,” Omukama y'agamba, “ndikuŋŋaanya ennema, eziwabye ndizizza, ne ze nali ndabizza ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “Ndikuŋŋaanya abalema, n’abo abaawaŋŋangusibwa n’abo abali mu nnaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, nditeeka wamu abawenyera, era ndikuŋŋaanya abo abagobebwa n'abo be nnalabisa ennaku;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ne nkuŋŋaanya wamu abawenyera, ne nkomyawo abo abaagobwa n'abo be nabonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuŋŋaanya omukazi awenyera, era ndireeta oyo agobebwa n'oyo gwe nnalabisa ennaku;