Micah 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennema ndizifuulamu abaasigalawo, n'ezo ezaagobwa, eggwanga ery'amaanyi. Omukama alibafuga ng'ayima ku lusozi Siyoni, okuva ku olwo n'emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalema ndibafuula abalonde, n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi. Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era abawenyera ndibafuula ekitundu ekyasigalawo, n'oyo eyasuulibwa ewala ndimufuula eggwanga ery'amaanyi; era Mukama anaabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka kaakano era n'emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abawenyera ndibafuula bakaawonawo, n'abaali bagobeddwa ne babeera ewala n'ewaabwe, ndibafuula eggwanga ery'amaanyi. Okuva olwo nnaabafugiranga ku Lusozi Siyooni emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndifuula oyo eyawenyera ekitundu ekyasigalawo n'oyo eyasuulibwa ewala ndimufuula eggwanga ery'amaanyi; era Mukama anaabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka kaakano era n'emirembe gyonna,