Micah 4:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ggwe, munaala gw'eggana, akasozi ka muwala wa Siyoni, obuyinza obwasooka bulikuddizibwa, obwakabaka buliddira muwala wa Yeruzaalemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga, ggwe ekigo eky’amaanyi ekya Muwala wa Sayuuni, ekitiibwa kyo eky’edda kirikuddira, n’obwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naawe, ggwe omunaala ogw'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, gyoli gyalidda, weewaawo okufuga okw'edda kulidda, obwakabaka buliddira omuwala wa Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naawe Yerusaalemu, omunaala okusinziirwa okulabirira eggwanga, ng'omusumba bw'alabirira eggana lye, oliddamu okuba ekibuga ekikulu eky'obwakabaka nga bwe wali edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naawe, ggwe ekigo eky'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, kulituuka gy'oli; weewaawo; okufuga okw'edda kulidda, obwakabaka obw'omuwala wa Yerusaalemi.
Recommended Reading