Micah 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati lwaki okuba ebiwoobe bityo? Mu ggwe temuli kabaka? Akuwa ku magezi yazaawa. Okulumwa kyekuvudde kukukwata ng'omukazi azaala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo? Temulina kabaka abakulembera? Omuwi w’amagezi wammwe yafa, ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki okaaba nnyo? Tewali kabaka gyoli? Akuwa amagezi azikiridde, obubalagaze ne bukukwata ng'omukazi alumwa okuzaala?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale okaabira ki ennyo n'obalagalwa bw'otyo ng'omukazi alumwa okuzaala? Lwa kuba nti tolina kabaka, wadde omuntu akuwa amagezi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lwaki nno okukaaba ennyo? tewali kabaka gy'oli, omuteesa wo abula? obubalagaze ne bukukwata nga omukazi alumwa okuzaala.