Micah 5:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naawe Beteleemu Efurata, asembayo obutono mu bika bya Yuda, mu ggwe mwe mulinviira ow'okufuga mu Yisirayeli. Ensibuko ye eri eyo mu mirembe egy'edda, mu nnaku eza ddi na ddi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye, kubanga tulumbiddwa. Omukulembeze wa Isirayiri balimukuba omuggo ku luba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kaakano ozingiziddwa n'ekisenge; tuzingiziddwa, n'omuggo bakubye ettama ly'omufuzi wa Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Yerusaalemu, mukuŋŋaanye eggye lyammwe. Batuzingizizza ffe! Balumbye omufuzi wa Yisirayeli!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano oneekuŋŋaanya bibiina bibiina, ggwe omuwala w'ebibiina; atuzingizizza ffe; balikuba iluyi omulamuzi wa Isiraeri n'onuggo.