Micah 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndizikiriza ebibuga by'ensi yo, ndimenyawo ebigo byo byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “Ndizikiriza embalaasi zo ne nsanyaawo n’amagaali go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndiggya wakati wo embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mu kiseera ekyo, ndibaggyako embalaasi zammwe, era ndisanyaawo amagaali gammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuggyamu wakati embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go;