Micah 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndizikiriza ebifaananyi byo ebya balubaale n'empagi zo emponge ndizikusimbulamu; toliddayo kuvunnamira mikono gyo bye gikoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obulogo bwo ndibumalawo era toliddayo kukolima nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na balaguzi nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndizikiriza eby'obulogo byammwe, temuliddayo kuba na balaguzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate;