Micah 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera ekyo Omukama alibaabuliramu akabanga, okutuusa oyo ali olubuto lw'alizaala. Olwo abasigaddewo mu baganda be balidda eri Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ggwe Besirekemu Efulasa, newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda, mu ggwe mwe muliva alibeera omufuzi wange mu Isirayiri. Oyo yaliwo okuva edda n’edda, ng’ensi tennabaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omutono mu bika byonna ebya Yuda, mu ggwe mwe muliva aliba gye ndi omufuzi mu Isiraeri; ensibuko ye ya dda na dda, emirembe nga teginnabawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ggwe Betilehemu Efurata, akamu ku bubuga obusingayo obutono mu Buyudaaya, mu ggwe mwe ndiggya omufuzi wa Yisirayeli, asibuka mu lunyiriri olw'emirembe egy'edda ennyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omuto okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo.