Micah 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliyimirira n'alunda eggana lye mu maanyi g'Omukama, mu bukulu bw'erinnya ly'Omukama Katonda we; olwo balituula ntende, kubanga olwo aliba mukulu okutuuka ku nkingi z'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana, era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo eri bannaabwe mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro oyo alumwa okuzaala lw'alizaala; kale baganda be abasigalawo balikomawo eri bannaabwe abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyaliva abawaayo okutuusa oyo alumwa okuzaala lw'alizaala. Olwo abantu b'ensi ye abaliba basigaddewo ne bakomawo eri Bayisirayeli bannaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro alumwa okuzaala lw'alizaala: kale baganda be abasigalawo balikomawo eri abaana ba Isiraeri.