Micah 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Y'aliba eddembe. Assuri bw'alizinda ensi yaffe, bw'alisambirira embiri zaffe, tulimusitulira abasumba musanvu okumulwanyisa, n'abaami munaana ab'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we. Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu okutuusa ku nkomerero y’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, ne mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era abantu be balibeererawo mu ddembe; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero zonna ez'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo bw'alijja, alifuga abantu be mu buyinza bwa Mukama n'obukulu bw'erinnya lya Mukama, Katonda we. Abantu be balibeera mu ddembe, kubanga aliba mukulu mu nsi yonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era balibeerera awo; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero z’ensi.