Micah 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaasigalawo mu Yakobo baliba wakati w'abantu enkumu, ng'omusulo oguva ew'Omukama, ng'oluwandaggirize ku bimera ebitalinda muntu, ebitalwa lwa baana ba bantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone. Naye alitulokola eri Omwasuli bw’alitulumba mu nsi yaffe era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo balifuga ensi ya Asuli n'ekitala, era ensi ya Nimuloodi n'ekitala ekisowoddwa; era balitulokola eri Omwasuli bw'aliba atuuse mu nsi y'ewaffe, era bw'alitambulira mu nsalo z'ewaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balirwana olutalo ne bawangula Assiriya, ensi ya Nimuroodi. Alituwonya Abassiriya, abaliba babuuse ensalo zaffe, ne bayingira ensi yaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo balyonoona ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi baligyonoona bwe baliba nga bayingiramu; naye alitulokola eri Omwasuli bw'alituuka mu nsi y'ewaffe era bw'alitambula mu nsalo z'ewaffe.