Micah 5:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaasigalawo mu Yakobo baliba wakati mu mawanga, wakati mu bantu abangi; baliba ng'empologoma wakati mu bisolo by'omu bibira, ng'omwana gw'empologoma mu ggana ly'endiga, ogulinnyirira nga bwe gugenda, oguyuzaayuza obulere nga tewakyali asobola kutaasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera wakati mu mawanga agabeetoolodde, babe ng’omusulo oguva eri Mukama, ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo obutalindirira muntu oba abaana b’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, era ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli abaliwonawo, baliba wakati mu mawanga amangi ng'omusulo oguva eri Mukama, era ng'enkuba etonnya ku bimera ebirabirirwa Mukama, ebitalabirirwa bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo.