Micah 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsonyiwe omuntu owa minzaani enkyamu, ow'ensawo ejjudde ebipimo eby'obulimba?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse, alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnyinza ntya okusonyiwa omuntu akozesa minzaani ey'obubi, n'ensawo erimu ebipima eby'obulimba?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyinza ntya okusonyiwa abantu abakozesa minzaani n'ebipimo ebirala ebitali bituufu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndiba mulongoofu bwe mba ne minzaani ey'obubi n'ensawo erimu ebipima eby'obulimba?