Micah 6:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olirya, naye tolikkuta; olubuto lwo lunaasigalanga nga luyala; oliterekanga, naye tolibaako ky'owonyaawo, kubanga ky'oliba owonyezzaawo ndikiwaayo eri ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoolyanga, naye n’otokutta, era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja. Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olirya, so tolikkuta; era olisigala okyalumwa enjala; olijjulula naye tolitwala mirembe, era kyolitwala ndikiwaayo eri ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulirya, naye temulikkuta. Mulisigala nga mukyalumwa enjala. Mulifiirwa bye mwatereka, ne bye muliwonyaawo ndibizikiririza mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olirya, so tolikkuta; era okutoowazibwa kwo kuliba wakati wo; era olijjulula, naye tolitwala mirembe; era ky'otwala ndikiwaayo eri ekitala.