Micah 6:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukutte amateeka ga Omuri, n'enkola yonna ey'ennyumba ya Akabu; mugoberedde enteesa zaabwe, kyennaava nkuleka n'ofuuka amatongo, n'abantu bo ne bafuuka ekinyoomebwa; ojja kwetikka ejjoogo ly'amawanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu n’ogoberera n’emizizo gyabwe, kyendiva nkufuula ekifulukwa, n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa era olibaako ekivume ky’amawanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mukuumye ebyalagirwa Omuli, era n'ebikolwa byonna eby'omu nnyumba ya Akabu; nammwe mutambulira mu kuteesa kwabwe; ndyoke nkufuule ekifulukwa, n'abo ababeera mu kyo, mulibeera eky'okuduulirwa; nammwe mulibeerako ebivume by'abantu bange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga mugoberedde empisa embi eza Omuri n'ebikolwa eby'ab'ennyumba ya Ahabu, era mukoledde ku magezi gaabwe. Kale mmwe abantu bange ndibazikiriza. Mulinyoomebwa abantu bonna, era mulivumibwa buli wantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebyalagirwa Omuli bikuumibwa, era ebikolwa byonna eby'omu nnyumba ya Akabu; nammwe mutambulira mu kuteesa kwabwe; ndyoke nkufnule ekifulukwa, n'abo ababeera mu kyo eky'okuduulirwa; nammwe mulitwala ebivume by'abantu bange.