Micah 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe ensozi, muwulire Omukama ky'avunaana; tega okutu, ggwe omusingi gw'ensi ogw'edda n'edda, kubanga Omukama alina ky'avunaana abantu be, ajja kuwoza ne Yisirayeli:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana; nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire. Mukama alina ensonga ku bantu be era agenda kuwawabira Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire, mmwe ensozi, obutategeragana obuliwo ne Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera, kubanga Mukama alina obutategeragana n'abantu be, era aliwoza ne Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe emisingi gy'ensi egy'olubeerera, muwulire okwemulugunya kwa Mukama, kubanga Mukama yeemulugunyiza abantu be. Ajja kulumiriza Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire, mmwe ensozi, ennyombo za Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera: kubanga Mukama alina ennyombo n'abantu be, aliwoza ne Isiraeri.