Micah 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbanunula mu nnyumba y'obuddu. Ne mbatumira Musa abakulembere, ne Aroni ne Miriyamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabaggya mu nsi ye Misiri ne mbanunula mu nsi ey’obuddu, ne mbawa Musa, ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nnakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne ntuma Musa ne Alooni ne Miryamu, okubakulembera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbanunula mu buddu. Natuma Musa ne Arooni ne Miriyamu okubakulembera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne nkukulembeza Musa ne Alooni ne Miryamu.