Micah 6:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bantu bange, mujjukire Balaki kabaka wa Mowabu bye yateesa, ne Balaamu mutabani wa Bewori bye yayanukula, n'ebyagwawo okuva e Sittimu okutuuka e Gilugali, mulyoke mutegeere ebikolwa by'Omukama eby'obutuukirivu bwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe abantu bange mujjukire ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera. Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bantu bange, mujjukire ebyo Balaki, kabaka wa Mowaabu bye yateesa okubakolako, n'ebyo Balamu mutabani wa Bewori bye yamuddamu. Mujjukire ebyabaawo nga muva e Sittimu okutuuka e Gilugaali, mulyoke mumanye bye nkola okubalokola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama.