Micah 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muntu ggwe, akulaze ekirungi bwe kiba; Omukama kino ky'akusaba, kino kyokka: Okubeera abatuufu, Okwagala ekisa, n'okutambula n'Omukama mu bwetoowaze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza, okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akubuulidde, ggwe omuntu, ekirungi bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukolanga eby'obwenkanya, n'okwagalanga, n'ekisa, era n'okutambula n'obuwombeefu ne Katonda wo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama atubuulidde ekirungi ky'ayagala. Mukama tatwagaza kirala wabula okukolanga ebituufu, n'okubanga ab'ekisa era n'okumusinzanga Katonda waffe nga tuli beetoowaze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akubuulidde, ggwe omuntu, ekirungi bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukola eby'ensonga, era okwagala ekisa, era okutambula n'obuwombeefu ne Katonda wo?