Micah 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eddoboozi ly'Omukama likoowoola ekibuga, - kya mukisa mulungi okutya erinnya lyo – nti: “Muwulire, mmwe ebika n'ekibiina ky'omu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka. “Kya magezi ddala okutya erinnya lye, n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, era kya magezi agatuukiridde okutya erinnya lyo, “Wulira ggwe ekika era abali awamu ab'ekibuga!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kya magezi okutya Mukama. Mukama akoowoola ekibuga nti: “Muwulire mmwe abakuŋŋaanira mu kibuga!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, n'ow'amagezi aliraba erinnya lyo; muwulire omuggo, n'oyo bw'ali agulagidde.