Micah 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zinsanze! Anti nfuuse ng'akungula ebibala eby'ekyeya, ng'omunozi w'emizabbibu. Teri kirimba kya kulyako, yadde entontogolo z'emikunyu ezisooka ze njoya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala zinsanze nze. Ndi ng’omuntu akungula ebibala okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu; tewali kirimba kya mizabbibu kulyako, wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zinsanze! Kubanga nfaanana nga bwe bamala okukuŋŋaanya ebibala eby'omu kyeya, ng'ezabbibu ezeerebwa mu lusuku, tewakyali kirimba eky'okulya; tewali ttiini eryengedde emmeeme yange lye yeegomba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga zinsanze nze! Ndi ng'omuyala atasanga kibala kisigadde ku muti, wadde ekirimba kisigadde ku muzabbibu. Ebirimba by'emizabbibu byonna n'emitiini gye njagala egisooka okwengera, binogeddwa, tekukyali kya kulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zinsanze! kubanga nfaanana nga lwe bamala okulonda emmere yonna ennungi, ng'ezabbibu ezeerebwa mu lusuku; tewakyali kirimba eky'okulya; emmeeme yange yeegomba ettiini esooka okwengera.