Micah 7:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo omulabe wange aliraba, alijjula ensonyi, oyo eyankiinanga nti: “Omukama Katonda wo ali ludda wa?” Amaaso gange galimutunuulira, ku luno nga bw'alirinnyirirwa ng'ebitoomi by'omu nguudo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo omulabe wange alikiraba, n’aswala, oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti, “Ali ludda wa Mukama Katonda wo?” Ndisanyuka ng’agudde, era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale omulabe wange, alikiraba, alikwatibwa ensonyi; eyaŋŋamba nti, “Mukama Katonda wo ali ludda wa?” Amaaso gange galimulabako, kaakano alirinnyirirwa ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo nno omulabe wange eyaŋŋambanga nti: “Mukama Katonda wo ali ludda wa?” Aliraba ekyo n'aswala. Ndisanyuka okulaba bw'alinnyirirwa ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale omulabe wange alikiraba, alikwatibwa ensonyi; eyaŋŋamba nti Mukama Katonda wo ali ludda wa? Amaaso gange galimulabako; kaakano alirinnyirirwa ng'ebitosi eby'omu nguudo.