Micah 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo balijja gy'oli okuva mu Assuri okutuuka e Misiri, n'okuva mu Misiri okutuuka ku Mugga, n'okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri, n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati, n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala, n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli, baliva mu Bwasuli okutuuka e Misiri, era baliva e Misiri okutuuka ku Mugga, okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bo balidda gy'oli, nga bava mu Assiriya ne mu bibuga bya Misiri, mu bitundu by'Omugga Ewufuraate, ne ku nnyanja, ne ku nsozi ez'ewala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli baliva mu Bwasuli ne mu bibuga bya Misiri balituuka gy'oli, era baliva mu Misiri okutuuka ne ku Mugga, n'okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi.