Micah 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bo balunde n'omuggo gwo, eggana ly'obusika bwo, abali eyo bokka mu kibira, wakati mu nsi ey'ennimiro; balundire e Basani n'e Gileyaadi nga mu nnaku ez'edda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lunda abantu bo n’omuggo gwo, ekisibo kye weeroboza, ababeera bokka mu kibira mu malundiro amagimu. Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Liisa abantu bo, n'omuggo gwo, ekisibo eky'obutaka bwo, ababeera bokka, mu kibira wakati wa Kalumeeri, baliire mu Basani ne mu Gireyaadi nga mu nnaku ez'edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, abantu bo be weeroboza, balabirire ng'omusumba bw'alabirira endiga ze. Bali bokka mu kibira, nga beetooloddwa ensi engimu. Baleke baliirenga mu Basani ne mu Gileyaadi nga mu biseera eby'edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Liisa abantu bo n'omuggo gwo, ekisibo eky'obutaka bwo, ababeera bokka, mu kibira wakati wa Kalumeeri: baliire mu Basani ne mu Gireyaadi nga mu nnaku ez'edda.