Micah 7:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga galiraba ne gaswala yadde ne ku maanyi gaabwe ago gonna; balikwata ku mumwa, amatu gaabwe galiziba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi, ne gamalibwamu amaanyi. Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe n’amatu gaabwe ne gaziba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amawanga galiraba, galikwatibwa ensonyi n'amaanyi gaabwe gonna, baliteeka engalo zaabwe ku kamwa kaabwe, era amatu gaabwe galiziba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu mawanga baliraba bino, ne batekemuka, newaakubadde nga ba maanyi. Balikwata ku mimwa, era baliziba amatu gaabwe nga beewuunya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amawanga galiraba, galikwatirwa ensonyi amaanyi gaabwe gonna; baliteeka engalo zaabwe ku kamwa kaabwe, amatu gaabwe galiziba.