Micah 7:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balikomba enfuufu ng'omusota, ng'ebyewalula ku ttaka. Baliva mu mikwesese gyabwe nga bakankana; balidda eri Omukama Katonda waffe mu kutya; balikutya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balirya enfuufu ng’omusota, ng’ebisolo ebyewalula. Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balikomba enfuufu ng'omusota; ng'ebyekulula eby'ensi baliva mu bwekwekero bwabwe nga bakankana, mu kutya balikyukira Mukama Katonda waffe, era balitekemuka ku lulwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balyewalula mu nfuufu ng'emisota, ne bava gye beekwese, ne bajja eri Mukama, Katonda waffe, nga batidde nga bakankana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balikomba ku nfuufu ng'omusota; ng'ebyekulula eby'ensi baliva nga bakankana mu bwekwekero bwabwe: balijja eri Mukama Katonda waffe nga batekemuka era balitya ku lulwo.