Micah 7:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda, ani akwenkana, ggwe asonyiwa ekibi, ab'obusika bwo abaasigalawo n'obasonyiwa emisango? Tosunguwala bbanga lyonna, naye osanyukira mu kulaga ekisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda ki omulala ali nga ggwe, asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo abaasigalawo ku bantu be? Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna, naye asanyukira okusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani Katonda nga ggwe asonyiwa obubi, n'ayita ku kwonoona okw'abasigalawo ab'obutaka bwe? Talemera mu busungu bwe emirembe gyonna kubanga asanyukira okwagala okwanamaddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teri Katonda mulala ali nga ggwe, ayi Mukama asonyiwa ebibi by'abantu bo abawonyeewo. Tolemera mu busungu bwo ennaku zonna, naye osanyuka okukwatirwa ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani Katonda nga ggwe asonyiwa obubi, ayita ku kwonoona okw'abasigalawo ab'obutaka bwe? talemera mu busungu bwe emirembe gyonna kubanga asanyukira okusaasira.