Micah 7:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oliddamu n'otusaasira, olirinnyirira ebibi byaffe, ebyonoono byaffe byonna olibikanyuga mu ddubi mu nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe, n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alikyuka alitusaasira; alirinyirira okwonoona kwaffe n'ekigere; era olisuula ebibi byaffe byonna mu buziba bw'ennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oliddamu okutusaasira. Olirinnyirira ebibi byaffe, n'obisuula mu buziba bw'ennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alikyuka alitusaasira; alisamba okwonoona kwaffe n'ekigere; era olisuula ebibi byabwe byonna mu buziba bw'ennyanja.