Micah 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nsi mubuzeemu abalungi; temukyali mutuufu n'omu. Bonna bateegeredde kuyiwa musaayi; buli omu ayigga munne n'ekitimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi; tewali n’omu mulongoofu asigaddewo. Bonna banoonya okuyiwa omusaayi, buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwegendereza abuze mu nsi, so tewali mugolokofu mu bantu; bonna bateega, okuyiwa omusaayi, buli muntu ayigga muganda we n'ekitimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewakyali mwesigwa mu nsi, tewakyali muntu mwesimbu. Buli muntu ateesa atemule, buli omu atega munne ekitimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwegendereza abuze mu nsi, so tewali mugolokofu mu bantu: bonna bateega okuyiwa omusaayi, bayigga buli muntu muganda we n'ekitimba.