Micah 7:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oliba mwesigwa eri Yakobo, ne Yiburayimu n'omulaga ekisa nga bwe walayirira bajjajjaffe okuva edda n'edda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo, n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu, nga bwe weeyama eri bajjajjaffe okuva mu nnaku ez’edda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oliraga Yakobo obwesigwa, n'okwagala okwanamaddala eri Ibulayimu, nga bwe walayirira bajjajjaffe okuva mu nnaku ez'edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oliraga obwesigwa n'ekisa abantu bo, bazzukulu ba Aburahamu ne Yakobo nga bwe walayirira bajjajjaffe okuva edda n'edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olikolera Yakobo amazima, olikolera Ibulayimu ekisa, bye walayirira bajjajjaffe okuva mu nnaku ez'edda.