Micah 7:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emikono gyabwe gyombi gyetegekedde kukola kabi; omufuzi aliko ky'asabayo, n'omulamuzi akkiriza enguzi, n'ali mu buyinza alagira nga bw'ayagala; bonna beekobaanidde wamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi; omufuzi asaba ebirabo, n’omulamuzi alya enguzi, n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala nga basala enkwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emikono gyabwe ginyikira okukola obubi. Omulangira n'omulamuzi baagala okuweebwa enguzi; n'omukulu ayogera ekibi ekibeera mu meeme ye, bwe batyo bwe babirukira awamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna bamanyirivu mu kukola ebibi. Abafuzi n'abalamuzi baagala kulya nguzi. Omukungu bw'ababuulira ku kibi ky'ateesa okukola, nga nabo bateesa wamu naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Engalo zaabwe zikwata ku by'obubi okunyiikira okubikola; omulangira asaba, omulamuzi ayagala okuweebwa empeera; n'omukulu ayogera ekibi ekibeera mu mmeeme ye: bwe batyo bwe babirukira awamu.