Micah 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasingamu obulungi ali nga kirobo, abasingamu obutuufu ali ng'olukomera olw'amaggwa. Lwe lunaku lw'abakuumi baabwe, olunaku lw'okubonerezebwa kwo lutuuse; ke kadde batabuketabuke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo; asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi. Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse, era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asinga obulungi ku bo, afaanana ng'omweramannyo, asinga okuba omugolokofu ku bo lukomera olw'amaggwa, olunaku olw'abakuumi baabwe, olw'okubonerezebwako lutuuse, kaakano okutabukatabuka kwabwe kutuuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abo abasinga obulungi bo bali nga katazzamiti; abo abasingamu obwesimbu bali ng'olukomera lw'amaggwa. Kaakano ekiseera kituuse babonerezebwe nga bwe baalabulibwa abalanzi baabwe. Kaakano basobeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo ku abo asinga obulungi afaanana ng'omweramannyo, omugolokofu ku abo asinga obubi olukomera lw'amaggwa: olunaku olw'abakuumi bo, lwe lw'okulabwako, lutuuse: kaakano we wanaaba okweraliikirira kwabwe.