Micah 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teweesiganga muliraanwawo; tossanga bwesige mu mukwano gwo; ne bw'aba mukazi eyeebaka mu mikono gyo, weegenderezanga ebigambo by'akamwa ko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewesiga muntu n’omu, wadde mukwano gwo, newaakubadde mukazi wo, Weegendereze by’oyogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temwesiga muliraanwa wammwe, tobeera na bwesige eri ow'omukwano; kuuma enzigi z'akamwa ko eri oyo agalamira mu kifuba kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temwesiga muliraanwa wammwe, wadde ow'omukwano. Mwegendereze bye mwogera ne bwe muba nga mwogera ne bakazi bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temwesiga wa mukwano, temulowoozanga mukulembeze nga mwesigwa; kuuma enzigi z'akamwa ko eri oyo agalamira mu kifuba kyo.