Micah 7:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omwana ow'obulenzi anyooma kitaawe, n'ow'obuwala asitukira mu nnyina, mukaamwana ayimukira mu nnyazaala we; abalabe b'omuntu be bantu ab'ennyumba ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omulenzi agaya kitaawe, n’omwana alwanyisa nnyina, muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we. Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omwana ow'obulenzi tassaamu kitiibwa kitaawe, omuwala akikinalira ku nnyina, muka mwana ku nnyazaala we; abalabe b'omuntu baba ba mu nnyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga omwana ow'obulenzi anyooma kitaawe, ow'obuwala akikinala ku nnyina. Muka mwana ayombesa nnyazaala we. Abalabe b'omuntu baba ba mu nnyumba ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omwana tassaamu kitiibwa kitaawe, omuwala akikinalira ku nnyina, muka mwana ku nnyazaala we; ab'omu nju be baba abalabe b'omuntu.