Micah 7:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe omulabe wange, tosanyukira nnaku yange; lwa kugwa, naye ndiddawo; lwa kutuula mu nzikiza, naye Omukama y'aliba ekitangaala kyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tonjeeyereza ggwe omulabe wange, kubanga wadde ngudde, nnaayimuka. Ne bwe naatuula mu kizikiza, Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tosanyuka ggwe omulabe wange; bwe ngwa, naayimuka; bwe ntuula mu kizikiza, Mukama anaaba musana gye ndi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe omulabe wange osanyukira bwereere nga nfunye ebizibu. Ne bwe ngwa, nnaayimuka. Ne bwe tuba mu kizikiza, Mukama anampa ekitangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tonsanyukirako, omulabe wange; bwe ngwa, naayimuka; bwe ntuula mu kizikiza, Mukama anaaba musana gye ndi.